Numbers 14:41-43

41 aNaye Musa n’abagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra. 42 bTemwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula. 43Kubanga Abamaleki n’Abakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”

Copyright information for LugEEEE